Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu
15 (A)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
“Totya Ibulaamu,
Nze ngabo yo
era empeera yo ennene ennyo.”
2 (B)Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” 3 (C)Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
4 (D)Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” 5 (E)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
6 (F)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. 7 N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 8 (G)Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” 9 Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
10 (H)Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11 Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.
12 (I)Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira.
17 (A)Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18 (B)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:
Zabbuli ya Dawudi.
27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
2 (B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
ne bagwa.
3 (C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
nnaabanga mugumu.
4 (D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5 (E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6 (F)Olwo ononnyimusanga
waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7 (G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (H)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
17 (A)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (B)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (C)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (D)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. 21 (E)Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
Okuyigiriza
4 (F)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
Yesu Anakuwalira Yerusaalemi
31 (A)Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamu ku Bafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti, “Tambula ove wano, kubanga Kerode ayagala kukutta.”
32 (B)Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, n’okuwonya abalwadde, leero, n’enkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza. 33 (C)Naye leero, n’enkya, ne luli nsaana mbeere ku lugendo lwange nga ntambula, kubanga tekisoboka nnabbi okufiira ebweru wa Yerusaalemi!
34 (D)“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana! 35 (E)Kale laba ennyumba yammwe erekeddwa awo. Era mbagamba nti temugenda kuddayo kundaba okutuusa ekiseera lwe kirituuka ne mugamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
Okufuusibwa
28 (A)Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. 29 Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana. 30 Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya, 31 (B)abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi. 32 (C)Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye. 33 (D)Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”
34 Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde. 35 (E)Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!” 36 (F)Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.
Yesu Awonya Omwana Eyaliko Dayimooni
37 Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38 Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39 Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40 Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”
41 (A)Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”
42 Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.