Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 27

Zabbuli ya Dawudi.

27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

(B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
    bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
    ne bagwa.
(C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
    omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
    nnaabanga mugumu.

(D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
    era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
    ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
    era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
(E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
    anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
    n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

(F)Olwo ononnyimusanga
    waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
    nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

(G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
    onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
    Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
(H)Tonneekweka,
    so tonyiigira muweereza wo,
    kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
    Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
    Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
    era onkulembere mu kkubo lyo,
    kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
    kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
    okunkambuwalira.

13 (K)Nkyakakasiza ddala
    nga ndiraba obulungi bwa Mukama
    mu nsi ey’abalamu.
14 (L)Lindirira Mukama.
    Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
    Weewaawo, lindirira Mukama.

Olubereberye 13:1-7

13 (A)Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.

Ibulaamu ne Lutti Baawukana

Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. (B)N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi, (C)mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama.

Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, (D)ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo, (E)ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.

Olubereberye 13:14-18

14 (A)Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; 15 (B)kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna. 16 Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. 17 (C)Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.”

18 (D)Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto.

Abafiripi 3:2-12

(A)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. (B)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. (C)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, (D)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.

(E)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. (F)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, (G)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (H)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (I)nga nsuubira nga nange ndizuukira.

12 (J)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.