Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
11 (A)Abajulizi abakambwe bagolokoka
ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (B)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (C)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
15 (D)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
ne bannumba nga simanyi,
ne bampayiriza obutata.
16 (E)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
ne bannumira obujiji.
17 (F)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (G)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (H)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (I)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
22 (J)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (K)Golokoka ojje onnyambe;
nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
tobaganya kunneeyagalirako.
25 (L)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
26 (M)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 (N)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
28 (O)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya Mukama
1 (A)Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. 2 (B)Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, 3 (C)ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.
4 (D)Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. 5 (E)Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. 6 (F)Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. 7 (G)Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. 8 (H)Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, 9 (I)era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.
10 (J)Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. 11 (K)Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. 13 (L)Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. 14 (M)Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu.
15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. 16 (N)Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo,[a] zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. 17 (O)Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. 18 (P)Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.
19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. 20 (Q)Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. 21 (R)Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.
22 (S)Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira. 23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. 24 (T)Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. 26 (U)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (V)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 (W)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.
Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
Okuyitibwa kwa Ezeekyeri
2 (X)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.”
23 (A)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.
Peetero mu maka ga Koluneeriyo
24 (B)Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25 Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 26 (C)Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
27 N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 28 (D)Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29 Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
30 Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31 N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32 Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ 33 Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.