Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
9 (A)Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu. 2 (B)Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?” 3 (C)Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.
4 (D)Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go. 5 (E)Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu
11 (A)Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. 12 Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? 13 (B)Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, 14 (C)naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. 15 (D)Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. 16 Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.