Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
    oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
(B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
    n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
(C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
    n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
(D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
    gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

(E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
    olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
(F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
    ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
(G)Omugongo gunnuma nnyo,
    ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
(H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
    nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

(I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
    n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
    n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
    ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
    n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
    Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
    nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
    atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
    onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
    oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17 Kubanga nsemberedde okugwa,
    era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
    nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
    n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
    era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21 (R)Ayi Mukama, tonjabulira;
    tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 (S)Ayi Mukama Omulokozi wange,
    yanguwa okumbeera.

Ebyabaleevi 5:1-13

Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi

(A)“ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.

(B)“ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango. (C)Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango. (D)Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu. (E)Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, (F)era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.

Ebiweebwayo olw’Ebibi eby’Abaavu

(G)“ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa. (H)Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko; (I)anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi. 10 (J)Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.

11 (K)“ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa[a] eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi. 12 Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 13 (L)Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ”

Lukka 17:1-4

Ekibi, Okukkiriza, Omulimu

17 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. (B)Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. (C)Mwekuume.

“Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. (D)Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.