Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
115 (A)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 (B)Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 (C)Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4 (D)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 (E)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (F)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (G)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
Mukama anaabawanga omukisa.
14 (H)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 (I)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16 (J)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (K)Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (L)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama!
Oluyimba lwa Debola
5 (A)Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:
2 (B)“Mutendereze Mukama
kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe
n’abantu ne beewaayo nga baagala.
3 (C)“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;
nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;
nze nnaayimbira Katonda w’Abayisirayiri.
4 (D)“Mukama, bwe wava e Seyiri,
bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
5 (E)Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,
ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.
6 (F)“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,
ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,
baatambuliranga mu mpenda.
7 Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo
okutuusa nze Debola lwe nayimuka,
nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
8 (G)Bwe beefunira abakulembeze[a] abalala,
entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.
Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena
kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
9 (H)Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,
n’eri abantu abeewaayo nga baagala.
Mutendereze Mukama.
10 (I)“Mukyogereko mmwe,
abeebagala ku ndogoyi enjeru,
mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,
nammwe abatambulira mu kkubo. 11 (J)Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,
nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,
ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.
“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,
ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
Byonna Bikolebwe mu Bulambulukufu
26 (A)Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda. 27 Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula. 28 Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi w’ennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.
29 (B)Kyokka abo aboogera eby’obunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ng’abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. 30 Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga. 31 Kubanga mwenna musobola okwogera eby’obunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi. 32 (C)Abalina omwoyo ogw’obunnabbi bafugibwa bannabbi, 33 (D)kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.
Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna, 34 (E)abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ng’amateeka bwe gagamba. 35 Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga ba bbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.
36 Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti mmwe be kyatuukako mwekka? 37 (F)Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu ow’omwoyo, ategeere mu bujjuvu nti bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. 38 Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.
39 (G)Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera eby’obunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza. 40 (H)Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.