Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 6:1-8

Katonda Atuma Isaaya

(A)Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. (B)Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. (C)Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,

“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:
    ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.

(D)Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”

Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto[a] ne nnamagalo. (E)Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”

(F)Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”

Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”

Isaaya 6:9-13

(A)Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,

“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
    n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10 (B)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
    oggale amatu gaabwe,
    n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
    oba okuwulira n’amatu gaabwe
    oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”

11 (C)Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”

Nanziramu nti,

“Okutuusa ebibuga lwe birizika
    nga tewali abibeeramu,
ne mu mayumba nga temuli muntu,
    ensi ng’esigalidde awo,
12 (D)okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,
    era ng’ensi esigadde matongo.
13 (E)N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo,
    nakyo kirizikirizibwa.
Naye ng’omumyuliru n’omuvule
    bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa,
    bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”

Zabbuli 138

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

1 Abakkolinso 15:1-11

Kristo Yazuukira

15 (A)Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. (B)Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. (C)Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (D)era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (E)era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. (F)Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. (G)Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.

(H)Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 10 (I)Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11 Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Lukka 5:1-11

Abayigirizwa Abaasooka

(A)Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti[a] ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda, n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe. (B)Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.

(C)Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!”

(D)Simooni n’addamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba.”

(E)Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka. Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo.

(F)Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.” Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, 10 (G)Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.

Yesu n’amuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.” 11 (H)Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.