Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Yoswa Alondebwa Okusikira Musa
12 (A)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. 13 (B)Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, 14 (C)kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.
15 Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti, 16 (D)“Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, 17 (E)afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”
18 (F)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo[a], omusseeko omukono gwo. 19 (G)Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 20 (H)Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 21 (I)Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”
22 Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
26 (A)Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 (B)Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 (C)Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 (D)Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
31 (E)Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.