Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Okufa kwa Alooni
22 (A)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. 23 (B)Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, 24 (C)“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. 25 (D)Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; 26 (E)Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
27 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. 28 (F)Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. 29 (G)Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.
19 (A)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 (B)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (C)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (D)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (E)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (F)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.