Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kwa Kaana
2 (A)Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,
“Omutima gwange gusanyukira Mukama;
amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.
Akamwa kange kasekerera abalabe bange,
kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”
2 (B)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
tewali mulala wabula ggwe;
tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
3 (C)Toyogera nate nga weewaanawaana
wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
era y’apima ebikolwa.
4 (D)Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa
naye abanafu baweereddwa amaanyi.
5 (E)Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere
naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.
Eyali omugumba azadde abaana musanvu,
n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.
6 (F)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
atwala emagombe ate n’azuukiza.
7 (G)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
atoowaza ate n’agulumiza.
8 (H)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.
9 (I)Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,
naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;
kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10 (J)Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;
alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.
Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;
aliwa kabaka we amaanyi,
era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.
Okuzaalibwa kwa Isaaka
21 (A)Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu n’akola Saala nga bwe yasuubiza. 2 (B)Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Mukama kye yamugamba. 3 (C)Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka. 4 (D)Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira. 5 Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.
6 (E)Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.” 7 Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”
Agali ne Isimayiri Bagobwa
8 Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.[a] 9 (F)Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 10 (G)N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”
11 (H)Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 12 (I)Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 13 (J)Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 14 (K)Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.
Agali ne Isimayiri mu Ddungu
15 Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16 Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
17 (L)Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 18 (M)Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”
19 (N)Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.
20 (O)Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 21 (P)Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.
Agali ne Saala
21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (A)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (B)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.
24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (C)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (D)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Sanyuka
ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”
28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (E)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (F)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.
Eddembe mu Kristo
5 (G)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.