Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
Okusaba kwa Kaabakuuku
3 Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.
2 (A)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
bimanyise mu biro bino,
era mu busungu jjukira okusaasira.
3 (B)Katonda yajja ng’ava e Temani,
Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
4 Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
5 Kawumpuli ye yakulembera,
Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
6 (C)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
7 (D)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.
8 (E)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
bwe weebagala embalaasi zo,
n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
9 (F)Wasowolayo akasaale ko,
wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10 (G)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
ne busitula amayengo gaayo waggulu.
11 (H)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (I)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (J)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (K)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (L)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
n’otabangula amazzi amangi.
Okusanyukira mu Mukama
16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
5 (A)Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza, 6 (B)ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. 7 (C)Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.
Okukozesa Olulimi Oluvvoola
8 (D)Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika. 9 (E)Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!” 10 (F)Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.
11 (G)Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.
12 (H)Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira; 13 (I)oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera.
14 (J)Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo. 15 (K)Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.” 16 (L)Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.
Okugumiikiriza
17 (M)Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 18 (N)bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 19 (O)Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.
20 (P)Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 21 (Q)nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.