Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
Emyaka Nsanvu egy’Obusibe
25 (A)Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. 2 (B)Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, 3 (C)Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
4 (D)Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. 5 Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. 6 (E)Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
7 (F)“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
8 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, 9 (G)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 10 (H)Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 11 (I)Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
12 (J)“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. 13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 14 (K)Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
13 (A)Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. 14 (B)Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.
15 (C)Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.
16 (D)Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe; 17 bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 18 (E)Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.