Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 59

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.

59 (A)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
    onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
(B)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
    era ondokole mu batemu.

(C)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
    Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
    so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
(D)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
    Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
(E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
    golokoka obonereze amawanga gonna;
    abo bonna abasala enkwe tobasaasira.

(F)Bakomawo buli kiro,
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
(G)Laba, bwe bavuma!
    Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
    nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
(H)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
    era amawanga ago gonna oganyooma.

(I)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10     Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
    ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (J)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
    abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
    n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (K)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
    n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
    leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13     (L)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
    bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
    nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.

14 Bakomawo nga buwungedde
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
15 (M)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
    ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (N)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
    mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
    era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
    kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

2 Bassekabaka 9:1-13

(A)Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi. Bw’otuuka eyo, onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge eky’omunda. (B)Oddire eccupa ey’amafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo n’akatono.”

Awo omuvubuka nnabbi n’agenda e Lamosugireyaadi. Bwe yatuuka, n’asanga ng’abaserikale abakulu ab’omu ggye bakuŋŋaanye n’ayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku n’amubuuza nti, “Bw’ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.”

(C)Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri. (D)Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa. (E)Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri. (F)Ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng’ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era n’okufaanana ng’ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. 10 (G)N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka. 11 (H)Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo n’amubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?”

Yeeku n’addamu nti, “Omusajja mumumanyi n’enjogera ye mugimanyi.”

12 Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ”

13 (I)Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”

1 Abakkolinso 1:18-31

Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda

18 (A)Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 (B)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
    ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

20 (C)Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 22 (D)Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 23 (E)naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 (F)naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 (G)Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (H)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (I)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 29 (J)waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 (K)Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 31 (L)nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.