Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Amagezi Gakoowoola
8 (A)Amagezi tegakoowoolera waggulu,
n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
2 Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
3 (B)ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
4 Mmwe abantu, mmwe b’empita;
nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka
nga tannabaako kirala ky’akola.
23 Nateekebwawo dda nnyo,
ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 (A)Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,
nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 (B)ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 (C)nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,
wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 (D)Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,
ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28 ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,
n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 (E)bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
amazzi galeme kusukka we yagalagira,
ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 (F)Nnali naye ng’omukozi omukugu,
nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,
nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 (G)nga nsanyukira mu nsi ye yonna,
era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Emirembe n’essanyu
5 (A)Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, 2 (B)era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. 3 (C)Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. 4 Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. 5 (D)Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.
12 (A)“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 (B)Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14 Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. 15 (C)Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.