Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 30

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
    kubanga wannyimusa;
    n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
(B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
    n’omponya.
(C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
    n’omponya ekinnya.

(D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
    mutendereze erinnya lye ettukuvu.
(E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Bwe namala okunywera
    ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
(F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
    wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
    ne neeraliikirira.
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
    ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
(G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
    ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
    n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
    Ayi Mukama, onnyambe.”

11 (H)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (I)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
    Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Isaaya 5:11-17

11 (A)Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
    banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
    okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 (B)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
    n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
    wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 (C)Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
    kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
    n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 (D)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
    era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
    n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 (E)Buli muntu alitoowazibwa,
    abantu bonna balikkakkanyizibwa
    era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 (F)Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
    era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 (G)Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
    n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.

Okubikkulirwa 3:14-22

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Lawodikiya

14 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda.

15 (B)Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. 16 Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. 17 (C)Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. 18 (D)Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.

19 (E)Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya. 20 (F)Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.

21 (G)Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. 22 (H)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.