Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa
8 (A)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
9 (B)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 (C)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
“omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
era teriba mulala alinzirira.
11 (D)Nze, Nze mwene, nze Mukama;
okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 (E)Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;
nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.
Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13 (F)“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;
tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.
Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14 (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Ku lwammwe nditumya e Babulooni,
ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe
mu byombo ebyabeewanya.
15 Nze Mukama, Omutukuvu wammwe,
Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
25 (A)Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 (B)ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 (C)Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 (D)kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Obutuukirivu obwa Nnama ddala
3 Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.