Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 (B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 (C)Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 (D)Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
Nnamwandu n’Akasumbi ak’Amafuta
4 (A)Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.” 2 (B)Erisa n’amuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” N’amugamba nti, “Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta[a] otutono ennyo.” 3 Erisa n’amugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. 4 Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ng’ekijjula ky’ossa wa bbali.”
5 Bwe yava waali n’addayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye n’abaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bw’attulula. 6 Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.”
Awo amafuta ne gakoma.
7 (C)Amangwago nnamwandu n’addayo ew’omusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”
Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano
10 (A)Awo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu n’abatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida. 11 (B)Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu n’abaaniriza, n’abayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, n’abaali abalwadde n’abawonya.
12 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”
13 Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!”
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.” 14 Waaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu.” 15 Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula. 16 (C)Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu. 17 Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.