Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (I)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
7 (A)Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye; 8 (B)bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”
9 (C)Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu. 10 (D)Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”
Musa Yeegayirira Katonda
11 (E)Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi? 12 (F)Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo. 13 (G)Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ” 14 (H)Mukama akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta.
Olugero lw’Endiga Eyabula
15 (A)Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza. 2 (B)Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.
3 (C)Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti, 4 (D)“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba? 5 Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza. 6 (E)Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’ 7 (F)Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
Olugero lw’Ennoso Eyabula
8 “Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba? 9 (G)Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’ 10 (H)Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.