Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
19 (A)Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’amaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ng’ajjudde obuswandi. N’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. 20 N’alagira abamu ku baserikale be ab’amaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’oluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. 21 Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe eby’ekitiibwa, ne seruwale zaabwe, n’eminagiro gyabwe n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 22 (B)Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. 23 Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24 Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?”
Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
25 N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
26 (C)Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”
Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27 (D)Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
28 (E)Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. 29 (F)Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
30 (G)Awo kabaka n’akuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza ery’e Babulooni.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna
8 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 (B)nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 (C)Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
11 (D)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.