Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
2 (B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
ne bagwa.
3 (C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
nnaabanga mugumu.
4 (D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5 (E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6 (F)Olwo ononnyimusanga
waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7 (G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (H)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa
17 (A)Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). 18 (B)Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi[a] eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 19 (C)N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,
“Katonda Ali Waggulu Ennyo
Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
20 (D)Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe
agabudde abalabe bo mu mikono gyo.”
Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.
21 Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”
22 (E)Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, 23 (F)sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ 24 Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”
17 (A)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (B)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (C)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (D)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.