Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kwa Dawudi.
17 (A)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2 Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.
3 (B)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4 Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 (C)Nnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.
6 (D)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7 (E)Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8 (F)Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9 (G)Omponye ababi abannumba,
n’abalabe bange abanneetoolodde.
10 (H)Omutima gwabwe mukakanyavu,
n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 (I)Banzingizza era banneetoolodde;
bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 (J)Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
era ng’empologoma enkulu eteeze.
13 (K)Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 (L)Ayi Mukama, mponya abantu,
abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.
Embuto zaabwe zigezze,
obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
ne bazzukulu baabwe.
15 (M)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Okubalibwa kw’Abayisirayiri
21 (A)Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri. 2 (B)Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”
3 (C)Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi. 5 (D)Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.
6 Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu. 7 Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.
8 Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”
9 (E)Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti, 10 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ”
11 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu: 12 (F)emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”
13 (G)Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”
14 (H)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. 15 (I)Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 (J)Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
17 (K)Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
Kristo Omuwolereza Waffe
2 (A)Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. 2 (B)Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna. 3 (C)Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. 4 (D)Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. 5 (E)Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. 6 (F)Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.