Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 71:1-6

71 (A)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(B)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(C)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(D)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(E)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(F)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.

2 Ebyomumirembe 34:1-7

Enkyukakyuka Yosiya ze yaleeta

34 (A)Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi. (B)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya Mukama eggolokofu.

(C)Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi. (D)N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka. (E)N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi. Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola, (F)n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.

Ebikolwa by’Abatume 10:44-48

44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! 45 (A)Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. 46 (B)Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.

Awo Peetero n’agamba nti, 47 (C)“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” 48 (D)Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.