Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Nekkemiya 8:1-3

(A)abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.

(B)Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu, Ezera kabona n’aleeta Ekitabo ky’Amateeka mu maaso g’ekibiina ekyalimu abasajja n’abakazi n’abalala abaali basobola okutegeera. (C)N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.

Nekkemiya 8:5-6

(A)Awo Ezera n’abikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu w’abantu bonna, era bwe yali ng’ayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira. (B)Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.

Nekkemiya 8:8-10

Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

(A)Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”

10 (B)Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”

Zabbuli 19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
    ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
(B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
    era liraga amagezi ge buli kiro.
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
    era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
(C)Naye obubaka bwabyo
    bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
    Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
    era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
(D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
    ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
    era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

(E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
    era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
    ligeziwaza abatalina magezi.
(F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
    kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
    bye galaba.
(G)Okutya Mukama kirungi,
    era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
    era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
    okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
    okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
    era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
    Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
    bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
    nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
    bisiimibwe mu maaso go,
    Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

1 Abakkolinso 12:12-31

Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi

12 (A)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (B)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (C)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (D)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.

21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.

27 (E)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (F)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (G)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (H)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

Lukka 4:14-21

Yesu Atandika Omulimu gwe mu Ggaliraaya

14 (A)Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. 15 (B)N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.

16 (C)Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,

18 (D)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
    Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
    n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19     (E)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”

20 (F)N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.