Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 135

135 (A)Mutendereze Mukama.

Mutendereze erinnya lya Mukama.
    Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
(B)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
    mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.

(C)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
    mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
(D)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
    ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.

(E)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
    era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
(F)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
    mu ggulu ne ku nsi;
    mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
(G)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
    atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
    n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.

(H)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
    ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
(I)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
    eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (J)Ye yakuba amawanga amangi,
    n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (K)Sikoni kabaka w’Abamoli,
    ne Ogi kabaka w’e Basani
    ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (L)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
    okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.

13 (M)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
    era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (N)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
    era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
    ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
    so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
    na buli abyesiga alibifaanana.

19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
    mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
    mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (O)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
    yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.

Danyeri 6

Danyeri asuulibwa mu Mpuku y’Empologoma

Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, (A)era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. (B)Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna. Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu. (C)Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”

(D)Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! (E)Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma. (F)Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”

Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe. 10 (G)Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we. 12 (H)Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”

Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”

13 (I)Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” 14 (J)Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.

15 (K)Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”

16 (L)Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”

17 (M)Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. 18 (N)Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.

19 Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma. 20 (O)Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”

21 (P)Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. 22 (Q)Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”

23 (R)Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.

24 (S)Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.

25 (T)Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,

“Emirembe gibeere gye muli!

26 (U)“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.

“Kubanga ye Katonda omulamu,
    abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
    n’okufuga kwe tekulikoma.
27 (V)Alokola era awonya:
    akola obubonero n’ebyamagero
    mu ggulu ne ku nsi.
Yalokodde Danyeri
    mu mannyo[a] g’empologoma.”

28 (W)Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.

1 Yokaana 2:12-17

12 Baana bange abaagalwa,
    mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 (A)Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
    kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
    kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
    kubanga mutegedde Kitaffe.

14 (B)Mbawandiikidde mmwe abakulu
    kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
    kubanga muli ba maanyi
    era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
    era muwangudde omubi.

Temwagalanga Nsi

15 (C)Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. 16 (D)Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. 17 (E)Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.