Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
12 (A)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (B)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (C)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (D)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (E)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
18 (F)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (G)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (H)okuwulira okusinda kw’abasibe,
n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (I)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
okusinza Mukama.
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (J)Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (K)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (L)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (M)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (N)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
Omukyala Omusunammu Addizibwa Ebibye
8 (A)Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.” 2 Omukazi n’asitukiramu n’akola ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, n’alaga ye n’ab’omu nnyumba ye mu nsi y’Abafirisuuti[a] okumala emyaka musanvu.
3 Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye. 4 Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.” 5 (B)Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.” 6 Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”
Pawulo ne Balunabba Baawukana
36 (A)Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali. 37 (B)Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo. 38 (C)Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza. 39 Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo. 40 (D)Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe. 41 Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.