Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 147:1-11

147 (A)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(B)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(C)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(D)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(E)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(F)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(G)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(H)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (I)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

Zabbuli 147:20

20 (A)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

Isaaya 46

Bakatonda b’e Babulooni

46 (A)Beri avunnama,
    Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
    Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
(B)Bikutamye byonna bivuunamye.
    Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
    byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.

(C)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
    n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
    be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
(D)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
    Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
    Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

(E)“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
    era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
(F)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
    ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
    ne bagwa wansi ne basinza.
(G)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
    N’ayimirira awo,
    n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
    tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.

(H)“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
    Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
(I)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
    Kubanga nze Katonda, teri mulala.
    Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 (J)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
    Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
    era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
    Omusajja[a] ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
    Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 (K)Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
    abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 (L)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
    tebuli wala.
    N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
    ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

Matayo 12:9-14

N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 10 (A)Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.[a] Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.

11 (B)Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 (C)Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”

13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 14 (D)Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.