Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Engero 8:1-21

Amagezi Gakoowoola

(A)Amagezi tegakoowoolera waggulu,
    n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
    mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
(B)ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
    ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
Mmwe abantu, mmwe b’empita;
    nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
(C)Mmwe abatategeera mufune okutegeera;
    nammwe abasirusiru mufune amagezi.
Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
    era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
(D)Akamwa kange koogera bituufu byereere;
    kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
    tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
    era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 (E)Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
    era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 (F)kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
    era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

12 (G)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
    era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (H)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
    nkyawa amalala n’okwemanya,
    n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (I)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
    ntegeera era ndi wa buyinza.
15 (J)Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
    abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange,
    n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 (K)Njagala abo abanjagala,
    n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 (L)Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
    obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 (M)Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
    n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
    mu kkubo ery’obwenkanya,
21 (N)n’abo abanjagala mbagaggawaza
    era nzijuza amawanika gaabwe.

Makko 3:13-19

Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri

13 (A)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 14 (B)N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 15 (C)N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:

16 (D)Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:

Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne

17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”

18 Andereya,

ne Firipo,

ne Battolomaayo,

ne Matayo,

ne Tomasi,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo

ne Saddayo,

ne Simooni, Omukananaayo,

19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.