Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (A)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (B)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (C)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (D)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (E)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
Okwemulugunya kwa Yeremiya
7 Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
buli muntu ankudaalira.
8 (A)Buli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
9 (B)Naye bwe ŋŋamba nti,
“Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
era ddala sisobola.
10 (C)Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
Mumuloope.
Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
tumugweko
tuwoolere eggwanga.”
11 (D)Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa,
kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.
Baakulemererwa era baswalire ddala
n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
12 (E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.
13 (F)Muyimbire Mukama Katonda.
Mumuwe ettendo.
Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku
mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi.
Olunaku lwa Mukama
3 (A)Abaagalwa, eno y’ebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana. 2 Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.
3 (B)Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, 4 (C)nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” 5 (D)Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi. 6 (E)Era olw’ekigambo ekyo ensi eyo ey’edda, amazzi gaagisaanyaawo n’ezikirira. 7 (F)Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.