Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 121

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(B)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(C)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(D)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(E)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Isaaya 51:1-3

Okukubirizibwa Okwesiga Katonda

51 (A)“Mumpulirize,
    mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:
Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,
    n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
(B)Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe
    ne Saala eyabazaala.
Kubanga we namuyitira yali bw’omu
    ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
(C)Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;
    akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika
era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,
    n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;
Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,
    okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.

2 Timoseewo 1:3-7

Okwebaza n’Okugumya

(A)Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. (B)Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. (C)Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina. (D)Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange. (E)Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.