Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (I)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
Okusiiba okw’Amazima
58 (A)Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,
tokisirikira.
Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,[a]
obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 (B)Kubanga bannoonya buli lunaku
era beegomba okumanya amakubo gange,
nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu
so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.
Bambuuza ensala ennuŋŋamu,
ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 (C)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 (D)Njagala mulabe.
Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,
n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.
Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 (E)Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?
Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?
Kukutamya bukutamya mutwe,
kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?
Okwo kwe muyita okusiiba,
olunaku olusiimibwa Mukama?
6 (F)Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
n’okumenya buli kikoligo?
7 (G)Si kugabira bayala ku mmere yo,
n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 (H)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 (I)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.
“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 (J)bw’olyewaayo okuyamba abayala
n’odduukirira abali mu buzibu,
olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,
ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 (K)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 (L)N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika
era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.
Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,
omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 (C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 (E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.