Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 68:1-10

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.

Zabbuli 68:19-20

19 (A)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (B)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.

Yobu 31:16-23

16 (A)“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
    era obanga nakaabya nnamwandu;
17 (B)obanga nnali ndidde akamere kange nzekka
    atalina kitaawe n’atalyako,
18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
    era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19 (C)Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
    oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
    olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21 (D)obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
    kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22 (E)kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
    leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23 (F)Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
    nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.

Lukka 8:40-56

Muwala wa Yayiro n’Omukazi Omulwadde

40 Yesu bwe yakomawo ekibiina ky’abantu ne bamwaniriza n’essanyu kubanga bonna baali bamulindirira. 41 (A)Mu kiseera ekyo ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro, n’agwa ku bigere bya Yesu n’amwegayirira ajje mu maka ge, 42 kubanga muwala we omu yekka gwe yalina, eyali aweza emyaka nga kkumi n’ebiri yali afa.

Yesu n’agenda naye, naye ng’ekibiina kimunyigiriza. 43 (B)Mu kibiina ky’abantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri ng’alwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ng’abasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya. 44 (C)Omukazi ono n’asemberera Yesu ng’amuvaako emabega, n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu, ekikulukuto ky’omusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!

45 (D)Yesu n’abuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero n’agamba nti, “Mukama waffe, ekibiina ky’abantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.” 46 (E)Naye Yesu n’addamu nti, “Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ng’amaanyi ganvaamu.” 47 Awo omukazi bwe yategeera ng’avumbuddwa, n’ajja ng’akankana n’agwa awo mu maaso ga Yesu, n’annyonnyola mu maaso g’abantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti n’obulwadde bwe bwawoneddewo!

48 (F)Yesu n’agamba omukazi nti, “Muwala wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.” 49 (G)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.”

50 Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.”

51 (H)Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, n’atakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe w’omwana, ne nnyina. 52 (I)Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!”

53 Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ng’omuwala afudde. 54 (J)Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, “Mwana wange, golokoka!” 55 Amangwago n’aba mulamu, n’asituka n’ayimirira. Yesu n’abalagira bamuwe ekyokulya. 56 (K)Bazadde b’omuwala ne beewuunya, naye Yesu n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.