Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 68:1-10

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.

Zabbuli 68:19-20

19 (A)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (B)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.

Yobu 24:9-25

(A)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
    omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
    betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
    ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 (B)Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
    n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
    Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.

13 (C)“Waliwo abo abajeemera omusana,
    abatamanyi makubo ge,
    abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 (D)Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
    n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
    ekiro abbira ddala.
15 (E)Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
    ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
    n’abikka ne ku maaso ge.
16 (F)Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
    kyokka emisana baba beggalidde.
    Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
    Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 (G)Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
    era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
    Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 (H)Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
    aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 (I)Olubuto lunaamwerabiranga;
    envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
    omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 (J)Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
    Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 (K)Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
    Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 (L)Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
    n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 (M)Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
    Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
    Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.

25 (N)“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
    n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”

Abaggalatiya 2:11-14

Pawulo Anenya Peetero

11 (A)Naye Peetero ate era nga ye Keefa, bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu. 12 (B)Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole. 13 (C)Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.

14 (D)Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.