Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.
68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
n’abo abamukyawa bamudduke.
2 (B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3 (C)Naye abatuukirivu basanyuke
bajagulize mu maaso ga Katonda,
nga bajjudde essanyu.
4 (D)Muyimbire Katonda,
muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5 (E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6 (F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.
7 (G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
n’obayisa mu ddungu,
8 (H)ensi yakankana,
eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9 (I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
Erifaazi Addamu
22 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 (A)“Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
3 Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
4 (B)“Akukangavvula lwa kumutya
era kyava akuvunaana?
5 (C)Okwonoona kwo si kunene nnyo?
Ebibi byo si bingi nnyo?
6 (D)Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
7 (E)Tewawa bakoowu mazzi,
abaagala wabamma emmere,
8 (F)wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9 (G)Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
10 Emitego kyegivudde gikwetooloola.
Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
11 (H)Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
era lwaki amataba gakubikkako?
12 (I)“Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13 (J)Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14 (K)Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
15 Onoosigala mu kkubo ery’edda
abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
16 (L)Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17 (M)Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18 (N)Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
19 (O)Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20 (P)‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
Pawulo Ayanirizibwa Abatume
2 (A)Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi. 2 (B)Nagendayo olw’okubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera n’abakulembeze b’Ekkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu. 3 (C)Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga. 4 (D)Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu, 5 (E)abo tetwabawuliriza essaawa n’emu, amazima g’enjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
6 (F)Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako, 7 (G)naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole, 8 (H)oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga. 9 (I)Yakobo ne Keefa[a] ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole. 10 (J)Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.