Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
135 (A)Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (B)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (C)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (D)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (E)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (F)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (G)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (H)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (I)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (J)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (K)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (L)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (M)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (N)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (O)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
Eby’ekivve mu Yeekaalu
8 (A)Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako. 2 (B)Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro. 3 (C)N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya. 4 (D)Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.
5 (E)Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya.
6 (F)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”
7 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe. 8 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango.
9 Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.” 10 (G)Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri. 11 (H)Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo.
12 (I)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’ ” 13 N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
14 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. 15 N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
16 (J)Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.
17 (K)N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! 18 (L)Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”
Firipo n’Omwesiyopya
26 (A)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (B)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (C)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (D)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (E)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 (F)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (G)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (H)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.