Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 96

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (L)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

1 Bassekabaka 16:29-34

Akabu alya Obwakabaka bwa Isirayiri

29 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30 (A)Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. 31 (B)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 (C)Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33 (D)Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.

34 (E)Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri n’addaabiriza era n’azimba Yeriko. Era olw’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, n’afiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye n’afa.

2 Abakkolinso 11:1-6

Pawulo n’abatume ab’obulimba

11 (A)Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. (B)Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; (C)kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. (D)Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. (E)Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.