Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
6 (A)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
so tombonereza mu kiruyi kyo.
2 (B)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3 (C)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4 (D)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5 (E)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
6 (F)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
n’omutto ne gutoba.
7 (G)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
Okubonaabona kwa Yobu
16 (A)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (B)Ansuula mu bitosi,
ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.
20 (C)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (D)Onkyukira n’obusungu;
onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (E)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (F)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
24 (G)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (H)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (I)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (J)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (K)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (L)Nfuuse muganda w’ebibe,
munne w’ebiwuugulu.
30 (M)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
n’omubiri gwange gwokerera.
31 (N)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”
46 (A)Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. 47 (B)Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
48 (C)Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”
49 Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”
50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.
51 Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. 52 N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”
53 (D)Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
54 (E)Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.