Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 (B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
n’abamba eggulu ng’eweema,
3 (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 (D)Afuula empewo ababaka be,
n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 (E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
teyinza kunyeenyezebwa.
6 (F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
n’ebirime abantu bye balima,
balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.
19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
ejjudde ebitonde ebitabalika,
ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
ne bifuna obulamu obuggya;
olwo ensi n’ogizza buggya.
31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.
Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.
Mumutenderezenga Mukama.
Bannamuŋŋoona Baliisa Eriya
17 (A)Awo Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi, n’agamba Akabu nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.”
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti, 3 “Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 4 (B)Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.”
5 N’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’alaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, n’abeera eyo. 6 (C)Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n’ennyama buli nkya na buli kawungeezi, era n’anywanga mu kagga.
Nnamwandu ow’e Zalefaasi
7 Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olw’obutabaawo nkuba mu nsi. 8 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 9 (D)“Situkiramu ogende e Zalefaasi ekya Sidoni obeere eyo. Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.” 10 (E)Awo n’agolokoka n’alaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki w’ekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya n’amusaba ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.” 11 Bwe yali ng’agenda okugakima, Eriya n’amukoowoola ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’omugaati.” 12 (F)N’addamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lw’obutta mu kibya n’otufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze n’omwana wange tubulye tufe.”
13 Eriya n’amugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bw’ogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu by’olina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe n’omwana wo. 14 Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Ekibya ky’obutta tekiriggwaamu, so n’akasumbi k’amafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lw’alitonyesa enkuba ku nsi.’ ”
15 N’agenda n’akola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu n’amaka ge. 16 Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.
6 (A)Kaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ng’anyooma omulala. 7 (B)Kubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ng’abataakifuna? 8 (C)Mwakkuta dda n’okugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe. 9 (D)Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu. 10 (E)Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 11 (F)Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. 12 (G)Tutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; 13 (H)abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.
14 (I)Siwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 15 (J)Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri. 16 (K)Noolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze. 17 (L)Kyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.
18 Naye waliwo abamu mu mmwe abeekuluntaza nga balowooza nti sigenda kujja gye muli. 19 (M)Naye nzija mangu, Mukama bw’anaasiima ndyoke mmanye amaanyi g’abo abeekuluntaza so si mu bigambo obugambo. 20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi. 21 (N)Kiruwa kye mwagala? Nzije n’omuggo, oba nzije na kwagala n’omwoyo ogw’obuwombeefu?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.