Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
ח Esi
57 (A)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 (B)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (C)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 (D)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 (E)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (F)Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 (G)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
11 (A)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
12 (B)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.
13 (C)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
aweweeza emmeeme ya bakama be.
14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.
Muliraanwa n’Omulabe
15 (D)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
16 (E)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
18 (F)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
19 Okwesiga omuntu ateesigika,
kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (G)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
era Mukama alikuwa empeera.
Okwagala
9 (A)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 10 (B)nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 11 (C)mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 12 (D)nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 13 (E)Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 (F)Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 15 (G)Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 16 (H)Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 (I)Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.