Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:33-40

ה Eh

33 (A)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
    ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
    era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
    kubanga mwe nsanyukira.
36 (B)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
    so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (C)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
    obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (D)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
    kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
    kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (E)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
    onkomyewo mu butuukirivu bwo.

Ebyabaleevi 24:10-23

Avvoola wa Kuttibwanga

10 Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira[a]. 11 (A)Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. 12 (B)Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.

13 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 14 (C)“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja. 15 (D)Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo. 16 (E)Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

17 (F)“Anattanga omuntu naye anattibwanga. 18 (G)Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo. 19 Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: 20 (H)obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga. 21 (I)Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga. 22 (J)Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

23 Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

Matayo 7:1-12

Temunoonyanga Bisobyo ku Bannammwe

(A)“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. (B)Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”

“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”

Musabe, munoonye, mweyanjule

(C)“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. (D)Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”

“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba? 12 (E)Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.