Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 6:9-22

Ekiragiro ky’okuzimba Eryato

(A)Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye:

Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. 10 (B)Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.

11 (C)Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu. 12 (D)Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu. 13 (E)Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. 14 (F)Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu. 15 Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 16 Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu. 17 (G)Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa. 18 (H)Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe. 19 Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe. 20 (I)Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu. 21 Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”

22 (J)Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.

Olubereberye 7:24

24 (A)Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

Olubereberye 8:14-19

14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.

15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti, 16 (A)“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. 17 (B)Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”

18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be. 19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.

Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Abaruumi 1:16-17

16 (A)Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. 17 (B)Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”

Abaruumi 3:22-28

22 (A)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23 Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 24 (B)Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 25 (C)Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26 Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.

27 (D)Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 28 (E)Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka.

Abaruumi 3:29-31

29 (A)Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 30 (B)Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31 Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.

Matayo 7:21-29

21 (A)“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 22 (B)Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 23 (C)Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

24 (D)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

28 (E)Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.