Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
    oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
(B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
    n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
(C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
    n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
(D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
    gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

(E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
    olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
(F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
    ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
(G)Omugongo gunnuma nnyo,
    ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
(H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
    nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

(I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
    n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
    n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
    ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
    n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
    Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
    nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
    atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
    onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
    oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17 Kubanga nsemberedde okugwa,
    era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
    nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
    n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
    era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21 (R)Ayi Mukama, tonjabulira;
    tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 (S)Ayi Mukama Omulokozi wange,
    yanguwa okumbeera.

Okukungubaga 5

(A)Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
    Tunula olabe ennaku yaffe.
(B)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
    n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
(C)Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
    ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
(D)Tusasulira amazzi ge tunywa;
    n’enku tuteekwa okuzigula.
(E)Abatucocca batugobaganya;
    tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
(F)Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
    okutufuniranga ku mmere.
(G)Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
    naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
(H)Abaddu be batufuga,
    tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
    olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 (I)Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
    olw’enjala ennyingi.
11 (J)Abakyala ba Sayuuni,
    n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 (K)Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
    n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
    n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 (L)Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
    n’abavubuka tebakyayimba.
15 (M)Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
    n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 (N)Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
    Zitusanze kubanga twonoonye!
17 (O)Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
    era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 (P)Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
    ebibe kyebivudde bitambulirako.

19 (Q)Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
    entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 (R)Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
    Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 (S)Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
    otuzze buggya ng’edda;
22 (T)wabula ng’otusuulidde ddala,
    era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.

Yokaana 5:19-29

19 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola. 20 (B)Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino. 21 (C)Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. 22 (D)Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, 23 (E)abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.

24 (F)“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. 25 (G)Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. 26 Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye, 27 (H)era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.

28 (I)“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye 29 (J)ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.