Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
18 “Mwerabire eby’emabega,
so temulowooza ku by’ayita.
19 (A)Laba, nkola ekintu ekiggya!
Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
Nkola oluguudo mu ddungu
ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 (B)Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,
ebibe n’ebiwuugulu;
kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,
n’emigga mu lukoola,
okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21 (C)abantu be nnekolera
balangirire ettendo lyange.
22 (D)“So tonkowodde ggwe, Yakobo,
era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23 (E)Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa,
wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo.
Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke
wadde okukukooya n’obubaane.
24 (F)Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo
wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo,
naye onkoyesezza n’ebibi byo,
era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
25 (G)“Nze, Nze mwene,
nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,
so sirijjukira bibi byo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
2 (B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
era anaamuwanga omukisa mu nsi;
n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
3 Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
n’amuwonya mu bulumi.
4 (C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5 (D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
“Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
6 (E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
7 (F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
nga banjogerako ebitali birungi.
8 Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
emukubye wansi tayinza kuwona.”
9 (G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
bwe twalyanga,
anneefuukidde.
10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.
18 (A)Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 (B)Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[a] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 (C)Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 (D)Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 (E)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.
Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba
2 Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. 2 (A)Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. 3 (B)Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. 4 Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. 5 (C)Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 6 Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, 7 (D)“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” 8 Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? 9 Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 10 (E)Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11 “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 12 (F)Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.