Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 41

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
    Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
(B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
    era anaamuwanga omukisa mu nsi;
    n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
    n’amuwonya mu bulumi.

(C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
(D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
    “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
(E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
    naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
    Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

(F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
    nga banjogerako ebitali birungi.
Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
    emukubye wansi tayinza kuwona.”
(G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
    bwe twalyanga,
    anneefuukidde.

10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
    onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
    kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
    ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
    oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.

Isaaya 39

Ababaka Okuva e Babulooni

39 (A)Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. (B)Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

(C)Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”

Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”

N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”

Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba: (D)Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama. (E)N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”

(F)Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”

Lukka 4:38-41

Yesu Awonya Abalwadde Bangi

38 Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. 39 (A)Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!

40 (B)Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya. 41 (C)Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.