Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
2 (B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
era anaamuwanga omukisa mu nsi;
n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
3 Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
n’amuwonya mu bulumi.
4 (C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5 (D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
“Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
6 (E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
7 (F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
nga banjogerako ebitali birungi.
8 Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
emukubye wansi tayinza kuwona.”
9 (G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
bwe twalyanga,
anneefuukidde.
10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.
Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde
38 (A)Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama 3 (B)ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
4 Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, 5 (C)nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. 6 (D)Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
7 (E)“ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde. 8 (F)Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
7 (A)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 (B)Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9 (C)Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 (D)Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11 (E)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 12 (F)Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 13 (G)era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.