Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
125 (A)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (C)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
okukola ebibi.
4 (D)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
bakolere ebirungi.
5 (E)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibe ku Isirayiri.
9 (A)Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11 (B)Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12 (C)Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
13 Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga. 14 (D)N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.
15 (E)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. 16 (F)Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”
Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
17 (G)Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18 Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”
Okutukuzibwa kwa Mazzi
19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.” 20 N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera. 21 (H)N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” 22 (I)Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
17 (A)“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. 18 (B)Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. 19 (C)Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, 20 mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 21 (D)eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 22 (E)Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 23 (F)Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’
24 (G)“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. 25 (H)Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ 26 (I)Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu
4 (J)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, 2 (K)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. 3 (L)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. 4 (M)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.