Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:41-48

ו Waawu

41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
    ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (A)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
    kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
    kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
    emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
    kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (B)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
    nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
    era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
    Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

Olubereberye 16:1-15

Ibulaamu ne Agali

16 (A)Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; (B)Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.”

Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.[a] (C)Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto.

Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. (D)Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.

Agali ne Isimayiri

(E)Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli. N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”

Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.” 10 (F)Era Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”

11 (G)Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti,

“Laba, olina omwana mu nda yo,
    aliba wabulenzi,
olimutuuma Isimayiri,
    kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.
12 (H)Aliba ng’entulege,
    anaalwananga na buli muntu
    era na buli muntu anaalwananga naye,
era anaabanga mu bulabe
    ne baganda be.”

13 (I)Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.” 14 Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.

15 (J)Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri.

2 Abakkolinso 6:14-7:2

14 (A)Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza? 15 (B)Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza? 16 (C)Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,

“Nnaabeeranga mu bo
    era natambuliranga mu bo,
nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.”
17 (D)Noolwekyo “muve wakati mu bo,
    mubeeyawuleko,
    bw’ayogera Mukama.
Temukwata ku bitali birongoofu,
    nange nnaabaaniriza.”
18 (E)Era “nnaabeeranga Kitammwe,
    nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.

(F)Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Essanyu lya Pawulo

(G)Mutuggulirewo emitima gyammwe, kubanga tewali n’omu gwe twasobya. Tewali n’omu gwe twakyamya. Tewali n’omu gwe twali tulyazaamaanyizza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.