Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
22 (A)“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 (B)Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 (C)Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 (D)Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
eddungu omutali muntu yenna,
27 (E)n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
n’okulimezaako omuddo?
28 (F)Enkuba erina kitaawe waayo?
Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 (G)Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 (H)amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?
31 (I)“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 (J)Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
34 (K)“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 (L)Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 (M)Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
era amafunfugu ne geegattira ddala?
Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu
15 (A)“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 16 (B)nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, 17 (C)Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.