Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 20

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Olubereberye 12:1-7

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

12 (A)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

(B)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
    era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
    olyoke obeere mukisa.
(C)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
    era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
    mwe galiweerwa omukisa.”

(D)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. (E)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

(F)Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. (G)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

Abaebbulaniya 11:1-12

Okukkiriza

11 (A)Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika. (B)Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.

(C)Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. (D)Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.

(E)Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa. (F)Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.

(G)Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.

(H)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo. (I)Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu. 10 (J)Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.

11 (K)Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa. 12 (L)Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.