Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka
43 (A)Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
ggwe Yakobo,
eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
2 (B)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
tegukwokyenga,
ennimi z’omuliro tezirikwokya.
3 (C)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4 (D)Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5 (E)Totya, kubanga nze ndi nawe,
ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6 (F)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7 (G)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
gwe nakola gwe natonda.”
Zabbuli ya Dawudi.
29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
14 (A)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (B)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (C)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (D)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
15 (A)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (B)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (C)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.