Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
5 (A)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 6 (B)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. 7 Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
8 (C)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, 9 (D)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (E)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
11 (F)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
12 (G)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
Zabbuli ya Dawudi.
23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2 (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 (D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
16 (A)Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. 17 (B)Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? 18 (C)Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
19 Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge. 20 Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna. 21 (D)Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda. 22 (E)Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa. 23 (F)Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira. 24 (G)Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.
11 (A)“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 (B)Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 (C)“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 (D)Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 (E)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 (F)Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 (G)Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.